E Kasambya-Mubende waliwo abazadde abasobeddwa, baabulwako omwana waabwe
Waliwo famire e Kasambya mu district ye Mubende esobeddwa oluvannyuma lw’okubulwako omwana waabwe ow’emyaka ekkumi nga kati gigenda mu myezi esatu nga tebamanyi gyali. Owen Ssentongo yabula nga 11 omwezi ogwomwenda omwaka guno era ensonga zaatuuka dda ku Poliisi.