E Mityana batemyetemye abantu bana, omu afudde
Kitegeerekese nga bwewaliwo omuntu omu attiddwa n'abalala basatu ne bafuna ebisago ebyamaanyi mu bulumbaganyi bw'ebijambiya obukoleddwa ku batuuze ku kyalo Namasenene ekisangibwa mu ggombolola ye Kalangaalo mu disitulikiti ye Mityana. Poliisi etandise okunoonyereza ku bulumbaganyi buno wabula nga mu kiseera kino eriko omuntu omu gwekutte agiyambeko okuzuula abali emabega w'obulumbaganyi buno obulabika nga bweyongera buli lukya mu kitundu kino.