EBIGGWA MU KIBIRA KYE NAKIYAGA: Ab’ekika ky’ekinyomo beekubidde enduulu eri Buganda
Abakulira ekika ky’ekinyomo bawanjagidde gavumenti y’e Mengo eyingire mu nsonga z’okubagobaganya ku ttaka okutudde ekiggwa ky’ekika kino. Ebigwa by’ekika kye kinyomo wamu n’ebyoto biri mu kibira kye Nakiyaga ku kyalo Kyaasa nga kino kireseewo embiranye wakati w’abantu abali mu kika kino n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibira mu gwanga ekya National Forest Authority. Gavumenti y’e Mengo bano ebaanukudde.