EBINAATEESEBWAKO MU NAM: Olutalo lwa Yisirayiri ne Hamas luli ku mwanjo
Olutalo oluli wakati wa Israel n'abapalasitine abe Gaza ky’ekimu ku bisuubirwa okwogerwaako mu lukungaana lw'amawanga ga nampa w'eggwanga oba NAM olutandika wiiki ejja e Munyonyo .Omubaka wa Uganda mu lukiiko lw'ekibiina ky'amawanga amagatte Adonia Ayebare agamba nti olukiio lw'amawanga gano lugenda kubaako kyelusalawo ku biwatagana n'olutalo oluliwo naddala nga yisiayiri eriko bantu besse .Kitegerekese nti abakulembeze b'amawanga amakumi asatu bebakakasiza okwetaba mu lukungaana luno , wewaawo nga waliwo abalala abatayagala kwasanguzibwa .