EBISALE EBIRALA EBY’ESSOMERO: Kaziimba awakanya ekya gav’t okubiyimiriza
Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda, Stephen Kazimba Mugalu awakanyizza government ku ky’okugaana amasomero gonna okusolooza ensimbi endala ezaawukana ku ffiizi z'okusoma. Ensimbi government z’eyawera okusolooza mulimu ez’okugula entambula y’esomero oba “school bus” ez’okulakulanya esomero omuli okuzimba ebizimbe, ez’ebibuuzo n’endala zonna ezisabibwa ebbali w'a ffiizi Wabula Kazimba agamba nti mu kino government eba ezza mabega amasomero gano kubanga obuyambi bw’egawa butono ddala.