Ebizibiti by’emisango ebibwatuka byeraliikirizza kkooti
Abalamuzi abawulira emisango egyanaggomola beraliikirivu ku ntereka y'ebizibiti ebitulika ebireetebwa mu misango gye bawulira entakera. Bano bagamba nti akadde konna batya nti ebizibiti bino biyinza okutulika ne bisanyaawo kooti kyoka nga bapangisa mpangise. Bino babibuulidde amyuka ssabalamuzi Richard Buteera, ku mukolo gwokubala emisango ogugenda mu maaso mu ggwanga lyonna.