Obutabanguko mu maka, e Buyikwe taata akwatiiddwa
Ku kyalo Makindu mu gombolola ye Najja mu disitulikiti ye Buyikwe waliwo omusajja akwatiddwa ng’alangibwa kudda ku mwana gw’azaala namukuba ng’akuba ekyokuttale. Kigambibwa nti Ronald Kizito ono aludde nga atuntuza ab’omunjuuye omuli abaana n’omukyala. Poliisi etubuulidde nti akadde konna wakugasimbagana n’omulamuzi ku byekuusa ku kutulugunya ab’omunjuuye.