EBY’OKUZIIKA SSEGIRINYA:Mu maka gy’azaalwa ab’enganda bali mu kutereeza kifo
Ku kyalo Butale-Kaddugala abadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya mwava, enteekateeka z’okumuziika zitandikiddwako . Eno omulambo gwakutuuka olunaku lw’enkya era nga okuyooyoota ekifo awagenda okubeera abakungubazi kugenda mu maaso . Abenganda batubuulidde nti Sseggirinya abadde mpagi nnene nnyo mu maka gano era ng’okufa kwe kubaleseemu eddibu ddene .