Eddembe ly’omwana omuwala; bangi lirinnyiriddwa baaluganda
Si kyangu kukkiriza kyokka nga kituufu nti ne ku mulembe guno,ekyaliyo abaana ab'obuwala abakyakugirwa okufuna ebyetaago by'obulamu ebikulu bepp n'okutulugunyizibwa mu ngeri ezitali zimu.Kuno kw'ogatta obwavu n'okusosolwa olw'ekikula kyabwe ekibaviirako okulemererwa okuba n'ebiseera by'omumaaso ebirungi.Olwaleero Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw'omwana omuwala nga yebuulirira ku mbeera mw'akulira.