Ekidiinidiini e Mityana kigaana abaana okusoma, kikugira okugenda mu malwaliro
Abatuuze abawangalira mu tawuni y’e Naama e Busimbu mu munisipaali y’e Mityana batuula bufo olw’ekidiinidiini ekitandise okusensera ekitundu kyaabwe.Ekidiinidiini kino kikugira eby'okutwala abaana mu masomero mpozi n'abantu okwettanira amalwaliro nga balwadde. Kati abamu ku batuuze basabye ab'obuyinza mu kitundu kyabwe bakome ku kidiinidiini kino nga tekinateeka bantu mu buzibu.