Ekika kye’ Ngonge kiwangude Engabo mu mpaka ze Bika bya Buganda
Ekika kye’ Ngonge kiwangude engabo yomwaka guno oluvanyuma lwokuba ekika kye Mbogo, ggoolo 2-0 mumpaka ze Bika bya Buganda ezakamalirizo ezibadde ku kisaawe e Wankulukuku. Ssekiganda Richard ne Sonko Richard bebateebye mukitundu ekisooka, okuyamba ekika kye Ngonge okuwangula engabo, omulundi gwabwe ogusookedde ddala. Ate mumpaka zokubaka ezabakyala, ekika kye Ngeye kikubye ENyonyi enyange ggoolo 37 - 36 okuddamu okuwangula ekikopo kye baawangula mu mpaka ezaayita.