Ekirowoozebwa okuba bbomu kibwatuse ne kitta babiiri e Njeru
Abantu babiri bafiiriddewo mu munisipaali ye Njeru mu disituliiti ye Buyikwe , ekintu ekiteberezebwa okubeera bbomu bwekitukirikidde mu kifo awakunganyizibwa ebyuma ebikadde oba Scrap. Bino bibadde mu kitundu ekyakazibwako Triangle village. Abakuuma ddembe basitukiddemu okunonyereza ku kivuddeko okutulika kuno.