ENSONGA EZIKWATA KU BAKYALA : Matembe ne Barbara Itungo basiimiddwa obutatitiira
Muko mukulembeze w'ekibiiba kI NUP Barbie Itungo Kyagulanyi yebaziza abakyala obuvumu bwebazze balaga nga bawagira ekibiina kino wadde nga waliwo okunyigirizibwa okuva eri Gavumenti Barbie Kyagulanyi okwogera bino abadde yegasse ku bakyala mu kibiina ki National Unity Platform okukuza olunaku lwa Bakyala ku kitebe kyekibiina e Kavule . Ye Miria Matembe asabye abakyala okusoosowazanga ensonga zabwe . Bobi wine naye asiimye abakyala olwokwoleesanga obuvumu.