ENTIISA E KABALE: Omusirikale wa poliisi akubiddwa amasasi agamusse
Entiisa ebuutikidde ekibuga Kabale, omusajja bwalumbye muganzi we omuserikale wa poliisi gwalinamu n’omwana n’amukuba amasasi agamuggye mu budde. Omusajja ono ategeerekese nga ye Denis Arinaitwe naye agezezzaako okwetta bweyeekubye ekyasi wabula nekitamukwasa bulungi nga kati ali mu ddwaliro ekkulu e Kabala gyajjanjabirwa Kigambibwa nti ababiri bano baasoose kufunamu butakkaanya.