Enzikiriza ya Orthodox: beetegekera okukyala kw’omutukuvu Paapa Patriarch Theodore's II
Ekeleziya yaba Orthodox eri mu keetalo nga beetegekera okukyala kw’omutukuvu Paapa Patriarch Theodore's II omulundi ogw'okubiri mu Uganda. Nga basinziira mu lukung’ana lwa bannamawulire, abali mu ntekakateeka y’okukyala kwa Paapa batubuulidde nti paapa wa kukulembera mu okusabira eggwanga naddala mu kaseera kano nga twolekera okulonda kwa 2026. Paapa asuubirwa okutuuka mu ggwanga erya Kenya olunaku olwaleero , mu uganda atuuke nga 18 omwezi guno.