Essomero lya Bumasobo S.S: Abayizi n’abasomesa bali ku bunkenke, embeera ya bugubi
Bumasobo SS erisangibwa okumpi n’ekifo awabumbulukuka ettaka omwaka oguwedde ekyaleka ng’abantu abawerako bafudde, lyakoze bulungi mu bigezo bya S.4 ebyafulumye omwka guno. Yadde ng’abaddukanya essomero lino beenyumiriza mu ngeri abayizi gye baakoze, baagala gavumenti eyongere ku bikozesebwa mu ssomero lino eryatandikibwa mu 2010 mu ggombolola ye Bumasobo.