Ettaka ly’e buyala: KCCA etadde emikono ku ndagaano z’obwannannyini
Abakulu mu kitongole ki KCCA batadde omukono kundagaana ekakasa obwananyini ku ttaka ly'e baafuna e Buyala okuyiwaka kasasiro. Bukya erangirira nti efunye ettaka lino, KCCA ebadde ku mbiranye n'abatuuze b'ekitundu kino ssaako ebitongole bya gavumenti ebifunaanyizibwa ku by'obutonde ebirudde nga birumiriza nti ettaka lino lya lutobazzi. KCCA esaasaanyizza obuwumbi 16 n'obukadde kikumi okugula ettaka lino.