Ettaka lya Kaaya: abaana b’omugenzi baagala Museveni abayambe okulitaasa
Waliwo abaana b’omugenzi Cranmer Kaaya abasobeddwa eka ne mukibira ku lw’ebigambibwa nti ettaka kwebatudde era kitaabwe ly’eyabalekera ku kyalo kireku mu district y’e Luwero lyatundibwa. Kigambibwa nti ettaka lino waliwo abaliguza kampuni ya High Way of Holiness International Evangelical foundation. Omu ku baana b’omugenzi Kaaya ayitibwa Kanyonyi Alex Kaaya agama nti agamba nti ettaka lino lyatundibwa ku kukyamu kubanga tewaaliwo kukaanya okuva mu baana bonna. Kato ono asaba omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni era eyalondebwa ng’omukuza w’abaana ba kaaya okuyingira mu nsonga zino.