Ettamiiro ku nguudo, kizuuse nga ab’ebidduka omwenge bagugula ku kkubo
Abakulembeze okuva mu disitulikiti z’e buvanjuba okuli Busoga , Bukedi, Bugisu , Teso ne Karamoja baagala gavumenti eteekewo ebbago okusobola okukoma ku budde abantu bwebanywerwamu omwenge. Kino kidiridde okukizuula nti abantu okuva mu disitulikiti eno beeyongedde okufa naddala nga kiva ku benje obugwa ku nguddo ,olwabagoba okuvuga nga bagangayidde. Okusinga bagamba nti bano omwenge bagunyweera mu birabo ebiri ku kkubo kwe bayita, ate nga abalala bagugula mu kitundu kye Nawandago e Jinja webagulengera ku kkubo.