Gavumenti esiibudde ababadde mu nkambi y'e Kiteezi
Minisita Omubeezi owebigwa bitalaze Lillian Aber awadde nsalesale wankya okuba nga buli muntu avuude mu Nkambi ye Kiteezi oluvanyuma lw'okugigga era alagidde nti buli muntu yena anasangibwa nga aganidde mu nkambi eno wakukwatibwa. Leero abantu ababadde bawangalira mu nkambi ye'kitezi basibuddwa era bawareddwa ebintu omuli Sukali , sabuni nebirala ebikozesebwa ewaka okubayambako okutandiika obulamu obupya.