Katemba mu kuziika Ssegirinya, ani yabadde omusobya?
Olunaku lweggulo waabaddewo katemba mu kuziika eyabadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya , oluwanyuma lwa banna NUP okulemwa okukkaanya ne palamenti ku kifo ekituufu webalina okukungubagira omugenzi. Kati twogedeko nabalondoola eby’obufuzi ne batuwa endowooza yaabwe ku ky’okutegeka emikolo egy’emirundi ebiri .Bano bagamba nti ensonga eno paalamenti yagitutte nga yakisaazi ekyaviiriddeko abamu ku bakungubazi okuzira omukolo ogumu ogwabadde gutegekeddwa kamisona waayo Mathias Mpuuga.