Katikkiro Mayiga asabye gav’t ekendeeze bbeeyi y’amasannyalaze okutaasa obutonde bw’ensi
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti erowooze ku ky'okukendeeza beeyi y'amasannyalaze ng'emu ku ngeri y'okutaasa obutonde bw'ensi. Katikkiro agamba nti kiswaza mu kyasa kino okubeera ng'abantu bakyafumbira ku nku n'amanda ekyongedde okukosa obutonde. Okwogera bino Katikkiro abadde ku mukolo gw'okukuza olunaku lwa Bulungi bwansi mu Buganda oguyindidde ku Mbuga y'essaza lye Kyaggwe mu Buikwe.