Laba engeri oluguudo lwa Kapchorwa - Suam gye luttukizza enkulaakulana e Sebei
Abakulembeze mu district y’e Bukwo mu bitundu by’e Sebei bawadde abatuuze amagezi okweyambisa oluguudo lwa Kapchorwa-Suam olwabazimbirwa mu ngeri y’okwekulaakulanya n’okukyusa embeera y’obulamu bwabwe. Olw’okubanga oluguudo luno luyunga Uganda ku Kenya lutunuuliddwa nti lusobola bulungi okwongera okutumbula eby’ensuubulagana wakati wa district y’e Bukwo n’abaliraanwa mu Kenya. PATRICK SSENYONDO atunuulidde gy’envudde w’ekitundu kino mu by’entambula.