Museveni akomekkerezza obugenyi bwe mu Kigezi
Minisita w'ebyettaka Judith Nabakooba atenderezza pulojekiti ya USMID gyagamba nti eyambye nnyo mukukulaakulanya gavumenti z'ebitundu. Nabakooba abadde Kabale Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni gyatongolezza enguudo ezenjawulo omuli olwa Rushoroza, Bwankosya ne Bushekwire. Meeya wa Munisipaali ye Kabale agamba nti enguudo zino zamugaso nnyo mu kukulaakulanya ekitundu.