Museveni asembezza Isebantu ne Inhebantu ku kijjulo, abasibiridde entanda
Pulezidenti Yoweri Museveni ne mukyala we Janet Museveni basabye obwa Kyabazinga okubunyisa engiri ya NRM eyokuggya abantu mu bwavu okuyita mu nteekateeka ezenjawulo. Bano akawungeezi k'eggulo baasembezza Kyabazinga Gabula Nadiope ow'okuna ne Inhebant Jovia Mutesi ku kijjulo mu maka g'obwa pulezidenti e Ntebe. Museveni ne mukyala we tebaasobola kubeera kumbaga ya Kyabazinga eyaliwo mu November w'omwaka oguwedde wabula baasuubiza okubasembeza ku kijjulo ky'okubakulisa ekkula lino Museveni bano yabawa ente kikumi.