NEMA emenye fakitole y’abachina ebadde ezimbibwa e Nansana
Fakitole y’abachina eyitibwa China Steel ebadde eri mu kuzimbibwa mu lutobazzi mu bitundu bye Ssanga mu ggombolola ye Gombe mu munisipaali ye Nansana emenyeddwa mu kikwekweto ekikoleddwa aba NEMA. Aba NEMA era baboye n’ebyuma ebibadde byeyambisibwa mu kuzimba kuno.