NEMA yaakulondoola abayiwa ettaka mu lw’e Kawuku
Mu kitundu kye Kawuku Bunga mu gombolola ye Makindye waliwo Musigansimbi atandise okuyiwa ettaka mu lutobazzi lwe Nyanja Nnakubaale mu ngeri enyooma ebiragiro by’ekitongole ki NEMA ekirera obutonde bwensi. Tukizudde nga bano bayiwa ettaka nga bwebasemberera enyanja, kyoka nga bakikola wakati mu bukuumi bw’abaserikale aba poliisi. Bbo ab’ekitongole ki NEMA batubuulidde nti batekateeka kuweereza bakugu baabwe mu kitundu kino okukakasa ebikolebwawo, n’ani yabawa olukusa.