Obubenje bw’omuliro: ab’e Toro baagala gav’t ebongerere ebimotoka ebiguzikiza
Abakulembeze mu disitulikiti ye Bundibugyo basabye gavumenti eyanguyirize mu nteekateeka y’okubafunira ebimotoka ebizikiriza omuliro olw’obubenje bw’omuliro guno okweyongera mu kitundu ate nga tebalina mmootika yonna eyinza kubayamba. Kino kiddiridde ekisulo ky’abayizi abawala ab’essomero lya Nyauka Parents okukwata omuliro n’ekiggwawo nga tewali ayinza kuyamba. Disitulikiti ye Bundibugyo n’endala mu bitundu bya Toro Zikozesa emmotoka emu ezikiriza omuliro ng’eno eri mu kibuga Fort Portal, ekiteeko obulamu n’ebintu byabantu mu matigga singa wabalukawo akabenje k’omuliro.