Ogwa Besigye ne Lutale, waliwo omujaasi agatiddwa ku ffayilo
Kkooti y'amagye nolwaleero eyongezzaayo okuwulira emisango egyivunaanwa Dr Kizza Besigye ne munne Obeid Lutale okutuusa olunaku olw'enkya, oluvanyuma lwa Bannamateeka b'ababiri okukalambira nti bano Kkooti y'amagye ebavunaana mu bukyamu. Bw'enaaba etudde ekya, Kkooti y'amagye yakuwa ensala yaayo ku kigambibwa nti ababiri bano ebavunaana mu bukyamu. Kyokka oludda oluwaabi bano lubongeddeko omusango gw'okulya mu nsi olukwe era waliwo ne munnamagye agattiddwa ku bavunaanwa.