Okujjukira omujulizi Adolf Ludigo, abalamazi beeyiye e katoosa gy’azaalwa
Abalamazi okuva mu ggwanga n’ebweru waalyo leero beeyiye ku kiggwa ky’omujulizi Adolf Ludigo Tibeyalirwa e Katoosa mu disitulikiti ya Kyenjojo okujjukira olunakulwe olukuzibwa buli nga 27th January. Omusumba w’essaza ly’ekereziya e Hoima Vicent kirabo akulembeddemu ekitambiro kya missa mu kusaba okutegekeddwa mu kilo kino era asabye abakkiriza okutwala abajjulizi nga ekyokulabirako okusalangawo era okulemera ku nsalawo ,naddala okukkiriza kwabwe. Basabye gavumenti ekulakulanye ekifo kituuke ku mutenedera gwensi yonna