Okulwanyisa mukenenya: e Kasambya waliwo akozesa ekizindaalo okusomesa abantu
Ku kyalo Kasambya mu gombolola ye Kasambya mu disitulikiti ye Mubende waliwo omusajja Elias Lwabyuma omulwadde wa kawuka akaleeta mukenenya eyewaayo okusomesa abantu engeri y’okukeewala ng’ayita ku bizindaalo eby’okukyalo. Okusinga ono akubiriza abatuuze okwewalira ddala amakubo gonna agayinza okubaleetera okukwatibwa mukenenya, songa abamulina abajjukiza okumira eddagala lyabwe, n’okwekuuma obutamusasaanya mu balala.