Okulwanyisa obwavu: ab’e Namayingo bazudde zzaabu
Abantu abasoba mu 2000 bebakeeyiwa ku kyalo Mpalo ekisangibwa mu town council y'e Namayingo okwenogera ku nnusu oluvannyuma lw'okuzuulayo eky'obugagga kya zzaabu.Zzaabu ono yazuulibwa ssabiiti bbiri emabega era nga abatuuze abamusima batubuliidde nti mwana wattu batandise okufuna ku kasimbi akayinza okubajja mu bwavu.Kyokka bbo abakulembeze beeraliikiridde olw'ebyokwerinda ebiyinza okusereba gattako eby'obulamu olw'okubanga abantu bano bali mu mujjuzo.