OKUSIMA AMAFUTA: Ekifo ewali enzizi ekye Tilenga kiri mu kuzimbibwa
Ababaka ba Uganda mu mawanga agalina kkampuni ezikolagana ne Uganda mu by'okusima amafuta batenderezza omulimu ogwakakolebwa mu kifo awasimibwa amafuta ekye Tilenga mu disitulikiti ye Buliisa. Okuzimba ebizimbe n'okuteekawo ebintu ebisobozesa okusima amafuta mu kif kino bigenda mu maaso era ng'okusinziira ku kkampuni ya Total evunaanyizibwa ku kusima amafuta mu kifo kino, bali ku bitundu nga 35. Ababaka bano era basiimye gavumenti okufaayo ku kuuuma obutonde wakati mu nteekateeka eno.