Okuziika Muhammad Ssegirinya, aba famire ssi basanyufu ne NUP
Ab’oluganda lwabadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya balaze enyiike olw’engeri bannabyabufuzu gye beefuze okuziika kwa muntu waabwe olunaku lw’eggulo, ne balemesa n’abamu okumuziikako. Bano bagamba nti ekyabannakibiina ki NUP okwefuga omulambo ne bagaana okugutwala mu kisaawe e Butale e wagazi kyagotaanyiza omukolo gwonna, omuntu waabwe naziikwa nga ataabadde mubaka wa bantu.