Omubaka Kalwanga agamba teyejjusa kwegatta ku kibiina ki NUP
Omubaka wa Busujju David Lukyamuzi Kalwanga mu kisanja kye ekyasooka yali talina kibiina mwava mu palamenti wabula nga yali akolagana ne NRM, ono agamba nti yagenda okulaba nga ebigendererwa bye tebikwataga ne NRM bwatyo n'asalawo okwegatta ku mugendo gwa People Power, ogweyubula okufuuka ekibiina ki National Unity Platform.
Ono awadde babaka banne amagezi obudde bwabwe obutabumaliria nnyo ku mirimu gikolebwa mu palamenti wabula okubeera ennyo mu constituency zaabwe, nga agamba nti abantu abemalidde ku palamenti ebiseera ebisinga tebaddamu kulondebwa. Twogeddeko naye mumboozi yaffe okumanyi ebikwatta ku babaka ba palamenti.