Omulamuzi akooye abajulizi abataggwayo mu musango gwa Suzan Magara
Omulamuzi wa kooti enkulu Alex Ajiji alagidde abali mumitambo gy’omusango gw’okutemula Susan Magara okuggalawo omusango guno sabiiti eno. Kino kivudde kubajjulizi 39 abaaletebwa okuwa obujjulizi mu musango guno, okwaali n’omusirikale AIP Desire Wandera eyali alina okuba omujjulizi asembayo okuwa obujjulizi, kyokka omuwaabi mu musango guno Irene Nakimbugwe n’asaba gwongezebweyo. Wano omulamuzi wa kooti enkulu wasabidde okumanya abajjulizi abasigadde n’amutegeza nga bwewabulayo abajjulizi musanvu .