Omwana eyabula e Kanyanya amaze n’azuuka, abazadde basanyufu
Ku lw’omukaaga oluwedde twakulaga emboozi y’omwana Patricia Shalom Massa, eyali abuze ku bazadde okumala wiiki nn.amba era nga baakoma ku butambi bwa kkamera obwalaga ngaliko omukazi gwagoberera Omwana ono amaze nazuuka era leero bazadde be tubasanze mu ssanyu oluvannyuma lw'okuddamu okumukubako ekimunye . Omwana ono Muzira kisa ye yamulonda era namutwala ku poliisi ye Katooke wabula nga yafunamu ekisago ku liiso . Abazadde basiimye NTV gye bagamba nti yayambye nnyo nga mu kuzuula omwana waabwe