Poliisi etaasizza ssentebe abatuuze gwe balumiriza obusiguze
Poliisi ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuse ababadde baagala okutuusa obulabe ku Ssentebe waabwe ow’ekyalo nga bamulanga bwenzi. Kino kiddiridde omu ku batuuze ku kyalo okweggya mu bulamu bw’ensi eno oluvannyuma lw’okukwata Ssentebe lubona nga ali ne mukyala we mu buliri. Bino bibadde ku kyalo Buyimini West mu district y’e Busia.