UCC egamba ekyanoonyereza ku byayisibwako ku leediyo Ya ’Pearl Fm’
Mu bingi eby'atuuka ku mulimu gw'amawulire mu biseera by'akalulu ka Kawempe North mw'emuli n'omukutu ogwaggyibwa ku mpewo ekitongole ekirondoola ebigenda ku mpwero ki Uganda Communications Commission. Pearl FM yamaamulwa ku mpewo nga kigambibwa nti emu ku program zaabwe eyitibwa Mpulidde Kamenya eyazannyibwa ku mpewo nga 12 March yalimu obubaka obwali bukuma omuliro mu bantu. Newankubadde wakyaliwo okwekenneenya okuzuula oba nga bano kyetaagisa okudda ku mpewo, bbo abakulembera omukutu guno bagamba nti kino kikosezza nnyo abawuliriza baabwe na ddala mu mwezi guno ogwa Ramathan mwe babayambira ennyo okwezza eri Allah.