Uganda eggyewo eby’okusasuza aba Congo ssente za visa
Okutandika nga lumu omwezi gwa January omwaka ogujja Bannansi ba Congo ne Uganda tebajja kwetaagisa kusasulira visa okusobola okujja kuno oba abeeno okugenda e Congo.
Kino kidiridde olukiiko lw'amawanga ga East africa okukkiriza eggwanga lya Dr. Congo okwegata ku mukagoo gwa East Africa gyebuvuddeko era nekisalibwawo obutasasuza bannansi visa okutambula mu mawanga gano.