Wuuno atobye n’abaana ba mukwano gwe bba be yamugobya
E Kawempe eri omukazi ali mu mbeera enzibu ennyo era ng'essaawyo yonna yandyesanga ngafuumuddwa mu nnyumba gyapangisa oluvannyuma lw'okumala emyezi nga tagisasula. Olive Nalule yasalawo atobe n'abaana ba mukwano gwe eyava mu bulamu bw'ensi eno oluvannyuma lwa bba okubamugobya.Ono azze akola emirimu egyenjawulo okubeezaawo abaana bano wabula nga mu kiseera kino mulwadde era nga tasobola kubaako kyakola ekiyingiza ensimbi.