Ababaka ba palamenti bawakanyizza obuwayiro obumu obuli mu bbago ly'obufumbo
Ababaka ba palamenti baagala obumu kubuwaayiro mu bbago ly’obufumbo bukyusibwemu nga bagamba nti mulimu ebirumira bingi. Essira lisinze kuteekebwa ku kawaayiro 89 akateekawo ekibonerezo eri abo abali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddinisa. Baagala gav’t ebeereko ebintu byessaawo okusikiriza abantu okwettanira obufumbo obutongole - ebbago lino liwomeddwamu omutwe omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi.