Abanoonyi b’obubudamu mu Kampala bakiikidde gavumenti ensingo olw’obutabafaako
Abanoonyi b’obubudamu abawangaalira mu kibuga Kampala, bakiikidde gavumenti ensingo olw’obutafaayo ku mbeera gyebawangaaliramu ey’okubonaabona. Bagamba nti okufuna ebiwandiiko ebibakkiriza okubeera wano kyalema, ekibafuukidde ekizibu okufuna obujjanjabi, okusomesa abaana baabwe kwosa n’emirimu mirala. Bino babiroopedde ekitongole ki Justice Centre Uganda, ekiyambako abantu okufuna obwenkanya naddala okuwoza emisango ku bwereere, bwebabadde babasisinkanye okumanya embeera mwebawangaalira.