Abakyala abasiraamu bakubirizza bannabwe okwewala okufumbiza abaana abatannetuuka
Abakola ku nsonga z’abaana n’abakyala ku muzikiti gwa Kampala mukadde bennyamivu olw’abazadde abasiraamu abakyafumbiza abaana abawala nga tebannetuuka. Bagamba kino kisinze kwettanirwa mu byalo nga abazadde bakikola olw’obwavu. Kati bagamba bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga balwanyisa ebikolwa bino, era abanaasangibwa bakuggulwako omusango gw’okujjula ebitannajja. Bino byogeddwa mu mpaka z’okusoma Quran ezitegekeddwa ku Uganda Muslim Supreme Council.