Ssaabasumba wa Kampala akubirizza abavubuka obutaggwamu suubi olw’embeera gyebayitamu
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala akubirizza abavubuka obutaggwamu suubi olw’embeera gyebayitamu ey’okusomooza eyinza okubaviirako okwekyawa. Okwogera bino abadde mu kuggulawo olukungaana lw’abavubuka abakatoliki olugenda okumala ennaku nga luyindira mu Busumba bw’e Hoima. Yye minisita w’abavubuka Balaam Barugahara abasabye okwewala okukozesa ebiragalalagala ebibaviiriddeko okutabuka obwongo.