Abavubuka e Mpigi basindikiddwa e Namanve okuyiga emirimu gy'omumitwe
Abavubuka e Mpigi baweereddwa omukisa okusoma eby’emikono kibayambeko okweyimirizaawo. Bangi ku bano babadde eby’okusoma byali byalema olw’ebbula ly’ensimbi ate abalala nga bayingirira ebikolwa by’obufumbo nga bakyali bato. Kati basindikiddwa ku ttendekero lya Namanve Industrial Training okumala ebbanga lya myezi ebbiri.