Omuntu omu afiiride mu muliro ogusanyizaawo garage n’ebibanda by’embaawo e Jinja
Omuntu omu yafiiride mu muliro ogusanyizaawo garage n’ebibanda by’embaawo ku luguudo lwa Spire mu kibuga Jinja. Omuliro guno gutandise mu matumbi budde, era nga poliisi eteebereza okuba nga guvudde ku masanyalaze. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga avuddeyo n’awanjagira abantu ssekinoomu okubeera n’ebitandikirwako ebiyamba mu kuzikiriza omuliro.