Eby’okugoba abali mu ntobazzi: Waakussibwawo akakiiko k’ebyobutonde okwetegereza ensonga
Kisalaidwawo wakati wa NEMA nobukulembeze bwa Kampala obukulembedwa Loodi Meeya Erias Lukwago waateekebwewo akakiiko K'ebyobutonde akagenda okutunula mu nsonga z'okumenya abantu abateeberezebwa okwesenza mu ntoobazi Kino kiddiridde abamu ku batuuze abaagobwa mu ntobazzi okwekubira enduulu nga bagamba nti baagobwa mu bukyamu ate ne bataliyirirwa .