Ennyanja eridde olukalu : Abatuuze b’e Ntoroko baagala gav’t ebayiiyize we badda
Abantu abawangalila okumpi N'ennyanja Muttanzige oba Albert mu town council ya Kanara mu district ya Ntoroko basula ku bunkenke oluvannyuma lwa amazzi g'ennyanja eno okweyongera obungi nga wetwogelera amayumba agamu gaatwaliddwa.
Waliwo n'ebifo bya gavumenti eby'enkizo gamba nga kkamera ezirawuna ennyanja ebisulirira okutwalibwa ennyanja.
Abakulembeze ebuuyi eyo,balowooza nti kyandibadde kya nkizo gavumenti okubaako ky'ekola mu bwangu okuziyiza ennyanja eno okusasaana.