Abaakisimattuka ekibonerezo ky’akalabba bakyalunyumya
Abalwanirizi b’eddembe bagala palamenti eyanguliyirizeeko okukola ennongosereza mu mateeka okusobola okujjawo akalabba ng’ekimu ku bibonerezo ebiweebwa abo ababa bazizza emisango egya Naggomola.Bano okwogera bino babadde ku mukolo gw’okujaguza olunaku lw’okuwakanya ekibonerezo ky’akalabba oguyindidde ku kitebe ky’ekitongole ki Foundation for Human Rights Initiative mu Kampala